donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abakugu basisinkanye okuwabulwa ku nkola ya 'Energy and Climate Change Smart Strategy'

Abakugu basisinkanye okuwabulwa ku nkola ya 'Energy and Climate Change Smart Strategy'
Abakungu nga bakubaganya ebirowoozo ku kutongoza enkola ya

Abakungu nga bakubaganya ebirowoozo ku kutongoza enkola ya "Energy and Climate Change Smart Strategy

Abakungu ba Minisitule y’Eby’Obugagga eby’Omuttaka ne GIZ, wamu n’abebuuzibwako ku by’Obutonde bw’ensi, basisinkanye abakungu ba Minisitule ya Bulungibwansi n’Obutonde bw’ensi mu Bwakabaka bwa Buganda okwogera ku ngeri y’okutongoza enkola ya "Energy and Climate Change Smart Strategy."

Enkola eno egendereddwamu kulaba nga abantu ba Buganda bakozesa amaanyi g’enjuba mu kufumba n’ebirala mu ngeri etejja kutaataaganya nkyukakyuka y’obudde., nnungi nnyo singa abantu baagala enfumba ey'omulembe.

Omukungu ng'ayanjula ku

Omukungu ng'ayanjula ku "Lwaki Tulina Okufaayo Ku Nkyukakyuka Y'obudde?"

Okugoba enku n’amanda, okusimba ebibira

Bagamba nti enteekateeka eno bw’eteekebwa mu nkola, ejja kuyamba okukendeeza okutema emiti olw’Enku n’amanda, ate era abantu bajja kussibwako essira ku kusimba ebibira n’okwongera okukulaakulanya enfumba ezikendeeza ku bungi bw’Enku ezikozesebwa.

Esigiri ezikendeeza ku amanda, amasannyalaze mu kufumba, n’okusikiriza abantu okuva ku kufumba Enku, ziri ku mutima gw’enteekateeka eno.

Abakugu bagamba nti okufumbira ku masannyalaze kisobola okusobya ku nsimbi entono okusinga Enku n’amanda.

Gavumenti esuubirwa okukendeeza ku bbeeyi y’Amasannyalaze

Wabula, bannabutonde bagamba nti okusobola okuyita mu nteekateeka eno kyetaagisa gavumenti okukendeeza ku bbeeyi y’amasannyalaze okulaba nga abantu bangi bayingira mu ngeri empya eno ey’okufumba ekitalina kwonoona butonde bw’ensi.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK