Oweek. Israel Kazibwe wati mu suuti nga alinabagenyi abavudde e South Sudan
Baaniriziddwa Oweek. Israel Kazibwe, Minisita w'amawulire okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka ku lwa Katikkiro. Abeebaziza olw'okwagala Kabaka n'Eggwanga lyabwe era abalambise ku nteekateeka z'Obwakabaka enz'enjawulo na butya bwebasobola okuzenyigiramu.
Bano abakulembeddwamu Ssentebe waabwe Kato Ssonko Lutaaya, beegattira mu Kibiina kyebaatuuma "Baganda Nkobazambogo South Sudan" era beekolamu amasaza ataano okuli; Kyaddondo, Buddu, Kyaggwe, Mawokota ne Ssese.
Mw. Lutaaya ategeezeza nti ekibiina krimu abantu abasoba mu 150 abaava mu bitundu bya Buganda eby'enjawulo era bakola emirimu egitali gimu, ayanjulidde Minisita ebimu ku bye bakola n'ebyo ebibasoomooza.