Omw. Birimuye Matovu ne mukyalawe nga bali ne Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza abafumbo bulijjo okusiga mu bufumbo bwabwe nga bawuliziganya saako nokuwang’ana ekitiibwa okusobola okubunyumirwa n’okubweyagaliramu.
Owek. Mayiga bino abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne munnamawulire omukozi ku BBS Terefayina ne CBS FM Omw. Birimuye Micheal Matovu ne mukyala we Nabachwa Vivian Birimuye abaagatibwa mu Lutikko e Kitovu mu Buddu gyebuvuddeko.
Katikkiro Mayiga agamba nti obufumbo ly’eggunjuliro erisookerwako eri omuntu yenna eranga buyamba okukkuza abaana abantu balamu, abakozi, abegendereza ate ng’abafaayo ku balala.
Abafumbo bano kamalabyonna abakubiriza okukuuma ekifaananyi ekirungi kubanga omwami Birimuye mukozi mu bwakabaka ate munna mawulire amanyiddwa abantu abangi ddala.
Abakulisiza olw'okukola okusalawo kuno, era abasabye obufumbo bwe batandise babutwale nga kikulu kubanga gwe musingi gw'Amaka. Bwatyo abasabye mu bufumbo bwabwe basse nnyo essira ku; mukwano, okuwuliziganya n'okubeeragana.
Katikkiro agamba nti Buganda okudda ku ntikko kitwaliramu enkuza y'abaana, ate nga kino kitandika na bufumbo, kubanga mu maka abaana abazaalibwa mwe bagunjulirwa ne basigibwamu empisa okubeera ab'obuvunanyizibwa okugatta ku nkulaakulana y'Ensi.