donate

Choose Language

Select your language

donate

Ababaka ba Palamenti abava mu Kabondo ka Buganda baleese amakula ga Ssaabasajja Kabaka

Ababaka ba Palamenti abava mu Kabondo ka Buganda baleese amakula ga Ssaabasajja Kabaka
Oweek. Joseph Kawuki ng’ayaniriza Hon. David Kalwanga Lukyamuzi, Omubaka wa Busujju, eyaleese amakula ga Ssaabasajja Kabaka mu kujaguza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 32.

Oweek. Joseph Kawuki ng’ayaniriza Hon. David Kalwanga Lukyamuzi, Omubaka wa Busujju, eyaleese amakula ga Ssaabasajja Kabaka mu kujaguza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 32.

Ababaka ba Palamenti abava mu Kabondo ka Buganda baleese amakula ga Ssaabasajja Kabaka mu kujaguza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 32.

Omuwanika w’Akabondo kano era Omubaka wa Busujju, Hon. David Kalwanga Lukyamuzi, ye yatuusizza amakula gano eri Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki.

Omubaka Kalwanga yagambye nti buno buvunaanyizibwa bwabwe, era kibakwatako butereevu okuvaayo ne bawagira enteekateeka eno. Bagasseeko nti basazeewo okuwaayo ettu lino nga bajjukira ebyo Ssaabasajja Kabaka by’akoledde Obwakabaka mu myaka gino.

Minisita Kawuki yayanirizza Omubaka ono ku lw’Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, n’abebaza olw’okwewaayo okwetaba mu matikkira gano n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK