Oweek Ahmed Lwasa nga ali na Oweek Mariam Mayanja Nkalubo nga batuuka ku mukolo
Ebiwandiiko ebitongole bitulaga nti omuwendo ogw'Abaana n'Abavubuka mu Uganda guli waggulu ddala okusinga ogw'abantu abakulu, era Uganda yemu ku Nsi ezisingamu abantu abato mu Nsi yonna.
Kino kitegeeza nti ebiseera by'e ggwanga lino eby'omumaaso biyinza okubeera ebitangaavu oba obutabeera okusinziira ku ngeri abaana abato gyebakwatiddwamu.
Bandi ng’ esanyusa abagenyi abejawulo ababadde ku mukolo
Obubaka buno Katikkiro abutisse Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Oweek. Ahmed Lwasa, ku mukolo gw'okuggalawo olusiisira lwa bulungibwansi mu baana n'Abavubuka mu Lubiri e Mmengo olukulungudde ennaku ssatu nnambirira.
Agamba nti bbo Abaganda baamanya dda omuwendo oguli mu baana kyebaava bagera olugero olugamba nti "Emiti emito gye giggumiza ekibira", okujjayo amakulu nti eggwanga liggumira baana na bavubuka.
Ku lulwe, Oweek Ahmed Lwasa, ayagala abaana balabe omugaso oguli mu nsiisira nga zino ne kyebasobola okuyiga, sso ssi kubuuza wa webafunira.
Ye Minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi, Amazzi n'Ekikula ky'Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, asanyukidde enteekateeka eya bulungibwansi mu baana gy'agambye nti bwekolebwa mu bavubuka abateeketeeke okugeza aba sikawutu Buganda ejja kunywera.
Abaana nga balya emmere
Wabula alabudde abalimira mu nnyanja ya Kabaka e mmere era n'asaba kikome mu bunnambiro kubanga eby'ennyanja bifudde olwa woyiro ayiibwa mu nnyanja eno.
Okuggumiza kino awadde obweyamo kulwa banna bulungiwansi, buli mwezi okuyonja ennyanja ya Kabaka mu kwongera okugikuuma nga nnyonjo.
Asibiridde abaana entanda baddeyo befumiitirize ku bye bayize lwakiri anywezeeko ogumu ku miramwa egyabasomeddwa.
Olusiisira lutambulidde ku mulamwa, "Bulungibwansi mu bavubuka abateeketeeke ge maanyi ga Buganda".
Entikko y'e bikujjuko ya nga 8 Mukulukusabitungotungo mu Kyaggwe ku mbuga ye Ggombolola ya Nyenga.