Oweek Joseph Kawuki nga ayogerako eri abakulembeze b'amagombolola
Abaami ab'Eggombolola basisinkanye Oweek. Joseph Kawuki Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu, era nga omulamwa gwabadde gwa ku balambika mu nkola entufu ey’emirimu.
Bano okubadde abaggya, n'ababaddewo, balambikiddwa ku ntambuza y'emirimu mu buvunanyizibwa bwe balina.
Abaggya baweereddwa n'ebbaluwa ezikakasa okulondebwa kwabwe.
Basabiddwa okukulembeza Kabaka mu byonna bye bakola.