Mw. Justus Kiptoo ku kono wakati ye Katikkiro nga bamukwasa cheque
Katikkiro bano abeezizza olw'ovaayo okuwagira enteekateeka z'Obwakabaka naddala eno ey'ebyobulamu n'ategeeza nti buli kkampuni etandika ebeera eyagala kukola magoba, kyokka tosobola kukola okujjako ng'oli mulamu bulungi. Ayongeddeko nti buli anaakola amagoba alina okunoonya akatale gyekali, era Buganda y'ensonga akatale mu Uganda yonna, bwatyo n'ayozaayoza aba Stabex olw'okusalawo obulungi okwegatta ku Bwakabaka.
Ku lwa Stabex, Mw. Justus Kiptoo ategeezeza nti newankubadde balwawo okwegatta obutereevu mu mirimu gy'Obwakabaka, naye bagiwagira, era kati ke bavuddeyo okugivvurira, bagenda kwongera okugiwagira ne mu nteekateeka endala nga emipiira gy'amasaza, egy'ebika, n'ebintu ebirala.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w'Amawulire n'Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Omukungu Remmie Kisaakye, Abakulu abalala okuva mu Stabex, era bano Katikkiro oluvannyuma abakwasiza emijoozi.