Nga bakulembedwamu Oweek. Prof. Badru Kateregga nga baliwamu neba girl guide.
Aba Scout baguze emijoozi gya bukadde 2 okuwagira kaweefube w'okulwanyisa Mukenenya.
Oweek. Serwanga mu kubakwasa emijoozi gino, abeebaziza nnyo olw'emirimu gye bakola naddala mu kuzimba abaana b'Eggwanga ate n'abasiima olw'okuwagira n'emirimu gya Kabaka.
Akoowodde abantu abalala okuvaayo mu bungi okwetaba mu misinde.
Bakulembeddwamu Oweek. Prof. Badru Ddungu Kateregga, ne Chief Commissioner waabwe Alice Nyiramahoro.
Era bategezeza nti ba kugenda mu maaso nga bawagira emirimu gy’obwakabaka n’enteeka teeka zona.