
Okuva kudyo Omusika, owek Katikkiro, Omutaka Kalibala, Lubuga
Henry Kawalya mutabani w'omugenzi y'asikidde kitaawe ate lubuga we ye Eriana Nansinkombi. Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwogera kwe ku mukolo guno akubirizza Obuganda okumanya obukulu bw'okwabya olumbe n'okugoberera ennono n'obulombolombo eby'omukolo guno. Ategeeza nti Olumbe gumu ku mikolo egy'ongera okunyweza obukulu bw'Ebika ebimanyiddwa obulungi nti Kabaka Kintu mwe yayita okugatta abantu be.
Katikkiro agamba nti Olumbe mukolo oguleeta abantu awamu oluvannyuma lw'okukungubaga, ne banyweza oluganda, ate n'okunnyikiza obuvo bwaffe. Akubirizza Omusika ne Lubuga we okukuuma omukululo gw'omugenzi ate n'okulungamya obulungi bannaabwe be bagenda okukulembera.
Omutaka Kalibbala Adnan Nsozi, Omukulu w'Ekika ky'Enseenene abaddewo mu lumbe lwa muzukkulu we ate eyali omukuza we.