donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Olukiiko lwa Buganda lutudde

Olukiiko lwa Buganda lutudde

Olukiiko lwa Buganda olusoose mu Lutuula olwa 31, lutudde, okusala entotto ez’okutuukiriza okulambika bwa Ssaabasajja Kabaka kwe yabalekera ng’aggulawo olutuula olwo ku Monday ya wiiki ewedde.

Katikkiro alambuludde ku nsonga Bbeene ze yassaako essira, omuli okusomesa eby'obulimi ku buwaze mu masomero okusobola okutumbula eby’enfuna y’Eggwanga, ate n’okukola ennyo okusobola okutuuka ku buwanguzi.

Asabye n’abavubuka abagaala okugenda ebweru okusooka okwefumiitiriza nnyo ku bigambo bya Kabaka bye yakozesa ng'abalabula ku kugenda emitala mayanja bwe twali tujaguza emyaka 30, ku Nnamulondo ya bajjajjaabe.

Akubirizza abantu obutabongoota nga Ssaabasajja Kabaka bwe yatulagira, okwewala okuwa omulabe wa Buganda omwagaanya, ssaako n’okulwanirira enfuga eya Federo, okwekulaakulanyiza byaffe.

Image

Katikkiro nga ayogerako eri oli olukiiko.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK