donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omubaka w’abavubuka mu lukiiko lwa buganda, oweek. Rashid Lukwago atikkiddwa digiri eyookusatu mu by’ennimi.

Oweek. Lukwago atikkiddwa ku ssettendekero wa Makerere olwa leero, era Katikkiro amuyozaayozezza.

Katikkiro amusiimye olw’okwewaayo n’asoma n’akuguka mu nnimi, naddala Oluganda, n’akiggumiza nti abantu bateekwa okusoma bakuguke, kuba kati obuweereza bwonna bwetaaga obukugu.

Amwebazizza olw’okuweereza Kabaka mu kitiibwa naddala ng’akulembera abavubuka, ate n’okugunjula abaana mu Kisaakaate kya Nnaabagereka.

Oweek. Lukwago yeebazizza nnyo Beene olw’okumukwasizaako ku by’ensoma ye, n’asuubiza okussa essira ku kusomesa n’okutumbula olulimi oluganda.

Image
Katikkiro nga yozayoza Oweek.Lukwago
Image
Oweek, Rashid Lukwago

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK