donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Minisita w'Amawulire, n'Okukunga abantu, era Omwogezi w’Obwakabaka Atandise Emirimu

Minisita w'Amawulire, n'Okukunga abantu, era Omwogezi w’Obwakabaka Atandise Emirimu

Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, yeetabye ku mukolo ogw'okukyusa obukulembeze bw'Ekereziya y'Omutukuvu Dominiko, e Kawanda, Wakiso.

Yeebazizza Ekereziya olw'okunyweza emitendera gy'obukulembeze bwayo, ate n'okussa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda.

Akubirizza abantu okukola ennyo balwanyise obwavu, n'okujjumbira omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw'obutsbongoota, okusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Obukulembeza obuggya bukulemberwa Omuk. Robert Ssewava omukulu w'Olubiri, nga Ssaabakristu.

Missa ekulembeddwamu Rev. John Paul Ntambazi, ow'e Masaka.

Image

Oweek. Israel Kazibwe Kitooke wakatti.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK