
Mukulike Omwaka Omukadde!
Luganda Virtual Academy ekoowoola abaana, abavubuka, n'abakulu okwewandiisa okuyiga Olulimi Oluganda mu 2025. Emisomo gitandika mu makati ga February okutuusa ku nkomerero ya October 2025.
Omwaka guno tuggya kuba n'emisomo ku Saturday, Sunday ne Thursday, ate n’enkola eya kibanja mpola, £20, okumala emyezi ena.
Ebisale
- £80 oba £95 (nga ogasseeko eza Luganda and English Phrase Book - £15) buli muyizi.
- Weetegereze: Omuyizi alina okusasula £20 nga tanatandika misomo.
📌 Emisomo egy’abaana ab’emyaka 7-15:
- Saturday: 10:00 - 11:30 AM or Sunday: 6:00 - 7:30 PM
📌 Emisomo egy’abavubuka ab’emyaka 16 okudda waggulu:
- Saturday: 2:00 - 3:30 PM or Thursday: 8:00 - 9:30 PM
Tusaba weewandiise nga 31st January 2025 terunatuuka.
OKWEWANDIISA: NNYIGA KU NNYUNGIRO ENO
Twesunga okubaweereza nate omwaka guno. Tubaagaliza omwaka gwa 2025 omulungi nga muyiga naffe.
Ssaabasajja Kabaka awangaale!
The Sitegedde Foundation Team
Email:
Luganda Virtual Academy